Amawulire
Gen Mugisha Muntu alekulidde FDC
Bya Damali Mukhaye.
Eyaliko ssenkaggalewa FDC Gen Mugisha muntu kyadaaki akakasizza nga naakakasa nga bwalekulidde ekibiina kya FDC, kyaludde ebanga nga awagira, kko nokukulemberako okumala emyaka etaano.
Mukiwandiiko Muntu kyawerezza,ono agambye nti oluvanyuma lw’okwerowooza asazeewo ave mu kibiina mu mirembe.
Kinajukirwa nti omukulu ono yafuga ekibiina kino nga president okuvamu 2012 okutuuka wano jjo lyabalamu mu 2017 bweyesimbawo ne Patrick Amuria okukakana nga amuwangudde.