Amawulire

Gen Katumba Wamala asimattuse obutemu

Gen Katumba Wamala asimattuse obutemu

Ivan Ssenabulya

June 1st, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Abadde minisita webyenguudo nemirimu Gen. Katumba Wamala asimattuse obutemu obukoleddwa ku mmotoka ye, e Bukoto okumpi namaka ge.

Kitegezeddwa nti Katumba abadde mu mmotoka ne muwala we ategerekeseeko erya Brenda ne dereva we nga bano bafiriddewo.

Bino bibadde ku Kisota road olugatta Kisaasi ku Bukoto.

Bwabadde ayogerako naffe, omwogezi wamagye ge gwanga aga UPDF Brig Gen Flavia Byekwaso akakasizza ebibaddewo.

Omu ku berabiddeko, nga mukozi ewa Gen Katumba atubuliidde nti babadde bakawukana naye, ngabadde agenda Najanankumbi ku lumbe.

Gen Katumba yaliko omuddumizi wmaagye ge gwanga aga UPDF, wakati wa 2013 ne 2017.

Yaddumirako amagye ge gwanga agoku ttaka wakati wa 2005 ne 2013.

Yaliko Ssabapoliis we’gwanga wakati wa 2001 ne 2005.

Wamala ye mujaasi eyasokera ddala okuva mu UPDF okukulembera poliisi.