Amawulire

Gen Katumba alongoseddwa, tali bubi

Gen Katumba alongoseddwa, tali bubi

Ivan Ssenabulya

June 1st, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye ne Ritah Kemigisa

Omwogezi wamagye ge’gwanga aga UPDF, Brig Gen Flavia Byekwaso ategezeza nga Gen Katumba Wamala bwamaze okulongosebwa era kati tali mu mbeera mbi.

Gen Katumba ali mu ddwaliro lya Medipal international hospital ajanajabibwa oluvanyuma lwokusimattuka obutemu obukoleddwa ku mmotoka ye e Kisaasi, mu budde obwokumakya.

Byekwaso agambye nti okunonyereza kugenda mu maaso.

Yye amyuka Ssabapoliisi we’gwanga AIGP Godfrey Golooba nga yakulira abakozi mu poliisi, asabye egwanga okusigala nga bakakamu, kubanga bagenda kunonyereza abakoze bino bavunanibwe.

Mungeri yeemu emirambo ebiri okuli ogwa muwala wa Katumba, Brenda Nantogo nabadde dereva Haruna Kayondo gitwaliddwa mu gwanika e Mulago okwongera okwekebejebwa.

Joyce Sentongo, nga mulamu wa Gen Katumba Wamala, agambye nti Brenda abadde yakakomawo okuva mu America oluvanyuma lwokumaliriza emisomo gye.

Kati yye abadde omubaka wa Kawempe North Latifu Ssebagala alaze okutya ku mbeera yebyokwerinda.

Abadde minisita, Dr Chris Baryomunsi naye avumiridde obutemu buno.

Okusinziira ku berabiddeko, abatemu babadde batambulira ku pikipiki 2 ezenjawulo.

Obutemu obwefananyirizaako nga buno ssi bwebusose, naye abantu abagundiivu abalala bangi abatiddwa mu mbeera yeemu.

Eyali omubaka wa Arua Ibrahim Abiriga, Andrew Felix Kaweesi eyali omwogezi wa poliisi, Meja Muhamadh Kigundu nabalala babattibwa mu mbeera bweti.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *