Amawulire

Gen Jeje Odongo anyonyodde ebikoleddwa

Gen Jeje Odongo anyonyodde ebikoleddwa

Ivan Ssenabulya

May 5th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Minisita owensonga z’omunda mu gwanga, Gen Jeje Odongo ategezezza nti wakati w’omwaka 2016 ne 2020, abantu 1,646 bebanunudde ababadde bakukusibwa.

Gen. Odongo okwogera bino abadde alaga egwanga ebyo ebikoleddwa mu kisanja kya gavumenti ya NRM kino, oba Manifesto Week.

Agambye nti emisango egiwerako gyatwalibwa mu kooti, nga 59 gyalamulwa era abavunanwa emisango nejibasinga.

Mu alipoota ya poliisi ekwata ku bumenyi bwamateeka, waliwo okweyongera kwemisango gyokukusa abantu okuva ku 177 mu 2017 atenga mu 2016, gyali emisango 125 ngokweyongera kuno kwali kwa 41.6%.

Ate mu mwaka oguwedde 2020, emisango 214 gyegyafunika, songa mu 2019 gyali 252 ngokudirirra kwali kwa 15.1%.

Mungeri yeemu minisita owensonga zomunda mu gwang Gen Jeje Odongo, agambye nti kyali kigendere endaga muntu okuzitekako ssalessale owa 2025.

Endaga muntu zino zatekebwako ennaku kweziteeddwa okukoma, nga kino kyaleeta ebibuuzo mu babntiu obanga obuzaale bwabwe mu Uganda bunakoma omwaka ogwo.

Wabula agambye nti baakikola basobole okwewa obudde, okuvumbula technologiya omulala anakozesebwa mu ndaga muntu.

Agambye nti balindiridde palamenti okuyisa ebbago erya National Biotechnology and Biosafety bill 2012, endaga muntu bagyongeremu technologiya ngesomebwa mu nkola yakikugu.