Amawulire

Gavumenti yeyamye ku mbeera z’abakadde

Gavumenti yeyamye ku mbeera z’abakadde

Ivan Ssenabulya

October 5th, 2019

No comments

Bya Benjamin Jumbe, Kamisona avunanyizibwa kunsonga z’abakadde mu ministule y’ekikula ky’abantu Masaba Sam Wekesa, agamba nti Gavumenti egenda kwongera okuwandiisa abakadde basobole okwanguyirwa okutusibwako empereza

Abakadde abasoba mu mitwalo 20 bebaganyulwa mu ntekateka ya gavumenti ey’okuwa abakadde emitwalo ebbiri ne kitundu buli mwezi era na batanatuuka ku lukalala okusasulibwa bakuwandisibwa.

Masaba agamba nti nabakadde abasusiza emyakla 85 ngebikumu byabwe tebisobola kuyingizibwa mu computer bakulaba engeri gye bayambibwamu

Bino byonna byabadde mu lukungana olwagenderedde okukubaganya ebirowoozo kunsonga eziruma abakadde mu ggwanga