Amawulire

Gavumenti yalemereddwa okwongera ku bungi bwentobazi

Gavumenti yalemereddwa okwongera ku bungi bwentobazi

Ivan Ssenabulya

May 16th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Gavumenti yalemereddwa okutuuka ku kirubirirrwa kyayo, kyeyalambika okwongera ku bungi bwetobazi mu gwanga.

Mu manifesto ya NRM eyoa 2016-2021, baali basubiza okwongera ku bungi bwentobazi okuva ku 10% okudda ku 12% wabula ekyabalemye.

Minisita wobutonde bwensi Sam Cheptoris wabula agambye nti wabaddewo okudirira okudda ku 8.9%.

Kino akitadde ku bungi bwabantu abagenda basanyawo entobazi okusengamu, nabalala okulimiramu namakolero.

Wabula waddenga guli gutyo, agambye nti gavumenti yasobodde okuzza entobazi eziwera hectare omutwalo 1 mu 9,347 ezaali zatwalibwa.

Kuno kuliko Katonga-Sembabule, Lubigi-Wakiso, Mazuba-Mpologoma e Namutumba, olutobazi olwe Tirinyi mu disitulikiti ye Kibuku nendala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *