Amawulire

Gavumenti eyagala kwewola obuwumbi 286 okuzaawo ebibira

Gavumenti eyagala kwewola obuwumbi 286 okuzaawo ebibira

Ivan Ssenabulya

February 18th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Minisitule yobutonde bwensi namazzi esabye palamenti ebaweolukusa, okwewol obuwumbi 286 okuva mu banka yensi yonna, okuzaawo ebibira ebisanyiziddwawo mu Uganda.

Bwabadde atekayo okusaba kuno mu kakaiiko ka palamenti akebyenfuna bye gwanga minisita avunayizbwa ku kutegekera egwanga David Bahati agambye nti awamu polojkiti eno yakuwementa obukadde bwa $ 178 nemitwalo 20, nga bwebuwumbi bwa silingi 652 nokusoba.

Ku ssente zino ezetagibwa, banka yensi yonna yakubawaako obuwumbi 286.

Agambye nti ssente zino zigenda kuyamba mu kuddukanya ebibira bya gavumenti 28, ebiwerako heactare 1 mu emitwalo 15.

Mu biralala polojkiti egenda kutondawo emirimu emitwalo 2mu 2,000.

Kati omubaka Aston Kajara, owe Mwenge South waddenga awagidde polokeiti eno, yebuzizza obanga ddala Uganda yetaaga kwewola okusobola okuzaawo ebibira.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *