Amawulire

Gavumenti eyagala kuwooza abajjayo ssente mu bbanka

Gavumenti eyagala kuwooza abajjayo ssente mu bbanka

Ivan Ssenabulya

February 11th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Minisitule yebyensimbi eriko ekiteeso kyeyetisse, okutandika okuwooza buli ssente enkalu omuntu zajjayo mu bbanka.

Mu bbaluwa eyawandikiddwa omumyuka womuwandiisi we gwanika lye gwanga Patrick Ocailap nga 9 February 2021, basabye gavana wa banka ye gwanga enkulu Tumusiime Emmanuel Mutebile abawe okuwabula kwe obutasukka olunnku lwenkya nga 12 February 2021.

Ministule egemaba nti waddenga mobile money esolozebwa omuolo gwa 0.5% abajjayo, agency banking ne ATM bibadde tebivaako musolo gwonna.

Ocailap agamby nti kino tekijja kukoma kwongera ku musolo naye kigenda kuyamba okutumbula ebyobusubuzi obutaliimu ssente mu mpeke oba e-commerce.

Kino agambye nti kyatukiddwako okuyita mu kwebuuza, oluvanyuma lwolukiiko olwaliwo nga 5 February wakati wabakulu mu Uganda communications commission, URA, abemikutu yamsimu naba bana enkulu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *