Amawulire

Gavumenti esabbidwa okutunulira ekibuuzo kya bannauganda
Bya Prossy Kisakye, Ng’emikolo gy’eggwanga egy’okwefuga gibulako ssaawa bussaawa banna kibiina kya Democratic Party basabye gavumenti okutunulira ekibuuzo kya bannaUganda abasinga eky’okukyussa obukulembezze.
Mu kwogerako eri bannamawuliire mu ku kitebe ky’ekibiina omuwandiisi wa mawulire ow’omukulembezze w’ekibiina kya DP Fred Mwesigwa ategeezezza nga ekibuuzo bwekitali ku nguundo,masanyalazze,ntindo wadde amafuta bannauganda bagala kulaba kyukakyuka mu bukulembezze bweggwanga lino.
Mwesigwa ategezezza nga buli bwe kibuuzo kino kibuzibwa ng’omukulembezze wakuno akyussa omulamwa.
Ono anokodeyo olukugaana lwa IPOD olwatuula nga 25th October, 2018 omukulembezze bwe yabuuzibwa ku ky’okukyussa obukulembezze yayanukula nga agamba nti ebyobufuuzi bwe bikwatagaana ne mirembe,ebyenjigirizza eby’obulamu kwossa n’enyingizza y’abantu tewabaawo buzibu
Aba DP kye bawakanya nga bagamba nti munsi ezakulakulaana edda eky’okukyussa obukulembezze kibaawo ate mu mirembe .