Amawulire

Gavumenti ekungubagidde Ssabasumba Lwanga

Gavumenti ekungubagidde Ssabasumba Lwanga

Ivan Ssenabulya

April 4th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Gavumenti yegasse ku bannaUganda, nobukatuliki okukungubagira abadde Ssabasumba we ssaza ekkulu erye Kampala, Dr Cyprian Kizito Lwanga.

Dr. Lwanga yafudde olunnaku lwe ggulo, oluvanyuma lwokumusanga mu kisenge kye nga wamazeemu amazzi.

Okufa kwe kwalangiriddwa Chancellor owessaza lye Kampala, Fr Pius Male Ssentumbwe.

Kati minisita wamwulire, ebyuma bi kalimegzi era avunayizbwa ku kulungamya egwanga Judith Nabakooba omugenzi amwogeddeko nti awagidde emirimu mingi egyenkulakulana, era ejirubiridde okusitula embeera zabantu.

Wabula agambye nti abantu betaaga, mu mbera eno bagumire ku mazukira ga Yesu.

Mungeri yeemu, Inter religious Council of Uganda ekibiina ekigatta enzikiriza mu gwanga bakungubagidde omugenzi Dr Cyprian Kizito Lwanga.

Okufa kwe kwongeddwako ngekkonde eryamaanyi eri enzikiriza nobukatuliki mu Uganda nokusukkawo.

Dr. Lwanga yabadde ssentebbe owa IRCU.

Ssabawandiisi wekibiina kino, Joshua Kitakule agambye nti omugenzi abadde mukozi, nagyogera amazima awatali kubikirira nsonga yonna.

Mu birala agambye nti era abadde awolereza nnyo abantu abatalina ddoboozi, era ababolebwa.