Amawulire

Gavumenti egye omusolo ku zikamera- DP

Gavumenti egye omusolo ku zikamera- DP

Ivan Ssenabulya

July 2nd, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Ab’ekibiina kya DP bavumiridde obuzzi bw’emisango obweyongera mu bitundu by’egwanga ebyenjawulo bwebatyo ne bawa gavumenti amagezi okulaba nga buli muntu asoboola okwettusaako kamera nga kino kikolebbwa mungeri y’okuzigyako omusolo.

Bwabadde ayogerako ne bannamawulire mu kampala senkagale w’ekibiina kino Nobert Mao agambye nti kamera  zigyibweko omusolo kisobozesse abantu okuzetusaako okusoboola okutangira obuzzi bw’emisango nga n’obukyasembyeyo bwe bwakoledwa ku mugoba wa boda boda ku nkomerero ya ssabiiti  mu ggombolola y’e Rubaga.

Nga ebyo bikyali awo aba Democratic Party bloc olunaku olw’enkya we bagenda okwanirizza omuyimbi Joseph Mayanja aka Jose Chameleon mu butongole wamu n’abantu abalala ku mukolo ogutegekedwa e Nsambya.

Bwabadde ayogerako eri banamawuliire Dr. Abed Bwanika ategezza nga chameleon bwagenda okuteeka omukono kundagano n’omukaago gwa DP block era bwatyo aweebwe kaadi y’omukaago guno

Mungeri yemu anyonyodde nga nga bwe bagenda okuwandiisa nokugaba obuvunanyizibwa obwenjawulo eri ba memba abapya wakati mukwetegekera enkyukakyuka mu bukulembeze bw’eggwanga lino mu mwaka 202

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *