Amawulire

Gavumenti egenda kwanukula kubya munnansi wa America eyabuzibwawo

Gavumenti egenda kwanukula kubya munnansi wa America eyabuzibwawo

Ivan Ssenabulya

April 27th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Ssabawolereza wa gavumenti owaleero asubirwa okulabikako mu kooti, okunyonyola ku mayitire ga munnansi wa America, Guy Milton Smith eyabuzibwawo abebyokwerinda mu kitundu kye Fort-portal.

Ssabawolereza wa gavumenti asubirwa okweyanjula mu maaso gomulamuzi wa kooti enkulu Moses Sekaana, eyamuyita wiiki ewedde.

Aba famile yomu-Merica ono, baddukira mu kooti enkulu e Kampala wiiki ewedde, nga bagala omuntu waabwe ayimbulwe awatali kakwakulizo konna.

Balumiriza nti bamugalidde ku kitebbe kya SIU e Kireka.

Kati ab’oluganda nga bakulmbeddwamu mukyala we Sharon Tusiime nabaana babairi okuli owemyaka 6 ne 11 bagamba ntu Guy, bamukwatira Kitebutura mu Njara ward e Fortportal nga yabuzibwawo mmotoka kika kya Drone, nga 21 March 2021 okuva olwo taddangamu kulabibwako.

Bano bagala ayimbulwe kuabnga nekibamalamu amaanyi, kwekuba nti ono tali ku lukalala lwabantu abakwatibwa, olwalagibwa palamenti.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *