Amawulire

Gavumenti egamba nti egenda kugula enyonyi 6

Ivan Ssenabulya

May 16th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Mu kawefube wokuzukusa ekitongole kya gavumenti ekye Uganda Airlines, gavumenti egamabanti egenda kugula enyonyi 6 ngomwaka guno tegunagwako.

Bwabadde ayogera ne banamwulire ku bikoleddwa gavumenti mu ministry yebyentambula mu kisanja kya NRM opkusinziira kwebyo byebasubiza, minister webyentambula Monica Azuba Ntege ategezeza nti 4 ezisooka zakugutandika okukola mu November womwaka guno.

Enyonyi zino 4 agambye zakubeera kika kya Bombardier CRJ900 nga zakoleddwa mu gwanga lya Canada nga zakutuuza abanasabaze 80 ku 100 nga zirubiridde okukolera mu East Africa, okugonza ku byentambula.

Ate endala, Airbus 2 kika kya A330 akutuuza abantu 300 nga zzo zaguliddwa kuva mu gwanga lya Bufalansa, nga zakutuka mu 2020.

Azuba Ntege agambye nti watereddwawo akakiiko  okussa mu nkola nokulondoola entekateeka za gavumenti zino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *