Amawulire

Gavumenti bajitutte mu kooti lwa Bbanja

Gavumenti bajitutte mu kooti lwa Bbanja

Ivan Ssenabulya

February 14th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah

Gavumenti bajiwalabanyizza okujitwala mu kooti, kampuni yobw ananyini enkuumi olwokulemererwa okubasasaula ensimbi obukadde 173, zebakolera nga bakuuma wofiisi za ministry yebyobulimi mu Kampala.

Aba Protectorate S.P.C bagamba nti ngennaku z’omwezi July 1st 2014, bayingira mu ndagaano ne gavumenti okukuuma wofiisi za ministry e Namalere era nebakikola.

Bagambanti endagaano bweyagwako baajizza obugya, era nebaweebwa omulimu okukuuma ku kkumiro lya ice e Bugolobi, mu maka gomuwandiisi owenkalakalira ku Wampewo Avenue nemu bifo ebiralala ngomulimu guno, gwali gwakusasula obukadde 86.

Mu mpaaba gyebatadde mu kooti, aba kampuni eno bagamba nti tebasasulwa, nga bagala kooti ekake gavumenti okubasasula obukadde 173 nolwokubamalira obudde.

Kooti ebadde tenayita gavumenti okwewozaako.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *