Amawulire

Gavumenti egasse abagalana mu bufumbo

Ivan Ssenabulya

February 14th, 2018

No comments

Bya Stephen Otage

Mu Kampala abagalana bakedde mu kibuga okwegulira ku birabo ebyokuwa abagalwa baabwe.

Yyo gavumenti esazeewo okuyambako emigogo gyabagalana 8 okufumbiriganwa mu butongole.

Essaawa wezaweredde 5 ezokumkya ngekiri ku mwaliriro ogwokutaano ku George Street mu wofiisi ya Registrar General, nga Mercy Kainobwisho, yakulembeddemu okubayisa mu birayiro.

Kimanyikiddwa nti gavumenti okuyita mu wofiisi eno egatta abantu mu bufumbo, abasing bwebayita obwa diisi nga kiri mu mateeka.

Eno abagala basasula emitwalo Shs 260,000 oluvanyuma nebagattibwa mu bbanga lya wiiki 3.

Wabula okusinziira ku Kainobwisho, gavumenti yetaddemu ssente ku mbaga zino.

Kuno kubaddeko bann-Uganda ne banansi ba Eritrea nga bagenda kukyaza nabagenyi buli mbaga abantu 20 ku Protea Hotel.

Wabula mu kubala okwangu, embaga wano mu Kampala emalawo obukadde Shs20.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *