Amawulire

Gavt eyongeza Bageti okudda ku busse 44

Gavt eyongeza Bageti okudda ku busse 44

Ivan Ssenabulya

April 23rd, 2021

No comments

Bya Damali Muhkaye,

Govt ekoze enkyukyuka mu mbalirira yomwaka gwe byensimbi ogujja okuva ku busse 41.2 okudda ku busse 44.6

Bwabadde ayogerera mu kutendeka bannamawulire abasaga aga palamenti ku bikwata ku mbalirira, akolanga diyirekita wa bageti mu munisitule eye byensimbi, Kenneth Mugambe agambye nti gavt ebadde teyateeka mu mbalirira eri mu bubage obuwumbi bwensimbi 500 ezirina okugula eddagala erigema ekirwadde kya Covid-19

Anyonyodde nti waliwo abagabi bobuyambi abakwasirizako eggwanga ku nsimbi zeddagala, gavt kwekusalawo okwongera mu mbalirira obusse obulala 3.4 okuzigata ku busse 41.2 ezasooka okugerekebwa.

Kati mu nnongosereza ezikoledwa mu mbalirira ebyobulamu ne byenjigiriza byebisinze okufuna omutemwa gwensimbi omunene nga gwa busse 7.5 ate ebyokwerinda nobukulembeze ne bikwata ekyokubiri no busse 6.9

Ebyenguudo námakolero agebyobulimi nabyo byongedwa ensimbi mu nnongosereza ezikoledwa

Mugambe atubuulidde nti embalirira eppya yakwanjulibwa mu palamenti mu ssabiiti ejja.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *