Amawulire

Gavt eweereddwa amagezi kungeri yókulwanyisamu covid

Gavt eweereddwa amagezi kungeri yókulwanyisamu covid

Ivan Ssenabulya

June 5th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Gavumenti eweereddwa amagezi kungeri yokulwanyisamu ekirwadde kya senyiga omukambwe.

Kino kidiridde omuwendo gwa bakwatibwa ekirwadde okweyongera wakati ngeggwanga lirwanagana nomuyaga ogwokubiri ogwekirwadde kino.

Okunonyereza okwakoleddwa aba Afro Barometer bauuganda 8-10 balina endowooza nti ensimbi ezaali ezokulwanyisa ekirwadde kya covid zabbibbwa abakulu mu gavt.

Okusinzira ku mukwanaganya wemirimu kye kibiina kino Francis Kibirige, bannauganda obutaba na bwesige mu gavt kunsonga ze kirwadde kino kyetaaga okutereezebwa olwo nabo basobole okudamu okugoberera ebiragiro ebyayisibwa mu kulwanyisa ekirwadde kino.