Amawulire

Gavt esomozedwa ku bantu abakubwa amasasi

Gavt esomozedwa ku bantu abakubwa amasasi

Ivan Ssenabulya

April 30th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Gavumenti esomoozeddwa okunonyereza ku butemu obugenda mu maaso mu ggwanga okuyita mu kukuba abantu amasasi, ababwenyigidemu bakangavulwe.

Bino byogeddwa Rev.fr Alex Kambagira okuva mu kigo kye Rubaga bwabadde akulembedemu emissa eyokusabira omwoyo gwomugenzi munnamawulire wa UBC Robert Kagolo, eyakubiddwa amasasi akawngeezi akayise

Fr. Kambagira agambye nti obussi bwe mundu bususe mu ggwanga obuvurideko bannauganda okunyigira gavt naddala abo abafiiridwako ababwe mungeri etyo.

Ono agamba nti mu ggwanga okutta omuntu kifuuse kya gyenjeero kuba nabatta banabwe kitono ekibakolwako.

Faaza asabye abatta banabwe okwekuba mu kifuba kuba bwe baalituuka mu maaso ga katonda siwakubadiramu.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *