Amawulire

Gavt esabiddwa okuyambako abayizi abalina akawuka ka Mukenenya okumira eddagala

Gavt esabiddwa okuyambako abayizi abalina akawuka ka Mukenenya okumira eddagala

Ivan Ssenabulya

November 21st, 2020

No comments

File Photo: Abayizi mu kibiina

Bya Prossy Kisakye,

Gavumenti esabiddwa okuyambako abayizi abalina akawuka ka mukenenya basobole okumira eddagala lyabwe awatali kusomozebwa.

Nicolas Nuwagaba akulira ekibiina ekirabirira abavubuka abalina akawuka aka sirimu, ekya Uganda Network of Young people living with HIV Aids (UNYPA), atubuulidde nti abayizi bangi mu bitundu bye gwanga ebyenjawulo bazze bemulugunya ku mbeera etabasobozesa kumira ddagala lyabwe

Bino yabyogeredde ku mukolo ogwokutikira baambasada mu mpaka za Y+ beauty pageant nga bano bekakozesebwa okukirira banabwe abalina akawuka mungeri yokubazaamu amaanyi

Niwagaba agamba nti ekyobusosoze obungi obukolebwa ku bayizi bano ku masomero gabwe kibakalubirira okugyayo eddagala lyabwe balimire

Mungeri yemu ye ambasada wa America mu Uganda, Natalie Brown, yalaze obwenyamivu olwomuwendo gwa baana abawala na bakyala abafuna akawuka ka mukenya abali wakati wemyaka 10-24 okweyongera bwogerageranya ne banabwe abalenzi