Amawulire

Gavt enyonyodde lwaki yali teyagala kuyisa bbago lya Yinsuwa yébyóbulamu

Gavt enyonyodde lwaki yali teyagala kuyisa bbago lya Yinsuwa yébyóbulamu

Ivan Ssenabulya

April 15th, 2021

No comments

 

Bya Ndaye Moses,

Gavumenti enyonyodde lwaki yagezaako okugyayo ebbago lye tteeka erikwata ku byóbulamu erya National health Insurance scheme bill mu lukiiko lwe ggwanga olukulu nga terinayisibwa.

Bino byogedwa minisita we byobulamu Dr. Jane Aceng nágamba nti bayagala ebbago obutayita nga bweryali kuba lyali lya kutiisa bamusiga nsimbi, n’abakozi

Gye buvudeko palamenti yayisa ebbago lye tteeka erya National Health Insurance Scheme (NHIS) Bill, ne kigendererwa ekyokugondeza obulamu bannauganda okufuna obujanjabi mu kaseera we babwetaagira.

Newankubadde nga minisita omubeezi owe byobulamu Robinah Nabanja yali aleese ekiteeso ebbago ligobwe.

Mu bbago lino buli mukozi afuna omusaala wakusalwako ebitundu 4% kunsimbize buli mwezi ate kampuni emukozesa emwongerereko 1% zitekebwe munsawo bwaba alwadde asobole okwanguyirwa okufuna obujanjabi.

Ate abantu abakola emirimu gya lejjalejja bakusasulanga emitwalo 10 buli mwaka.