Amawulire

Gavt eleese enkola ya E-posta

Gavt eleese enkola ya E-posta

Ivan Ssenabulya

February 25th, 2021

No comments

Bya Moses Ndaye,

Gavumenti etongoza enkola eyokuwereza obubak okuyita ku mutimbagano oba kiyite e-Postal service ngómu mu kawefube owokutukiza enkola ya posita.

Bwabadde atongoza enkola eno mu kampala, minisita avunanyizibwa ku byamawulire, Judith Nabakooba, agambye nti enkola eno egenda kusikiriza bangi okwefunira posita ekimu ku bisanyizo eri omuntu yenna agenda okukola kampuni.

Abagala okwegata ku nkola eno bakwewandiisa okuyita mu posta Uganda. Era enkola eno yakuyambako ne bannaugandaabali mu bifo ebisumbuyibwa internet okuwereza obubaka obulungi.

Enkyukyuka mu nkozesa ya intenert munsi yonna eleese enkyukyuka nnyingi mu byenfuna kuba abantu kati banguyirwa okwetanira okuwereza obubaka okuyita ku meyilo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *