Amawulire

Gavt egyewo omuggalo okumala ennaku 2 abayizi badde mu byalo

Gavt egyewo omuggalo okumala ennaku 2 abayizi badde mu byalo

Ivan Ssenabulya

June 8th, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye

Gavt egyewo kafyu okumala ennaku 2 okusobozesa baasi ne taxi ezigenda ewala okutwala abayizi abava ku masomero okudda ku byalo.

Kino kidiridde namungi womuntu okusula mu paaka ezenjawulo nga balinda bukye balyoke batambule baleme kubakwata kafyu.

Omukulembeze weggwanga ku sande yalagira abayizi okudda eka okumala ennaku 42 oluvanyuma lwobulwadde bwa covid okweyongera ne mu masomero.

Kati omuteesiteesi omukulu mu minisitule eno, Dr Diana Atwine agambye nti bogerezeganyiza naba minisitule ye byentambula okulaba oba basobola okufunira abayizi entambula endala babawewule ku bisale ebyekanamye.

Dr Diana atangaziza nti ne kafyu agidwawo okuva leero okutuusa ku lwokuna nga 10 June 2021 eri baasi ne taxi ezigenda ewala abayizi baleme kusumbuyibwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *