Amawulire

Gavt egaanye ebyókwongezaayo obudde bwa Kafyu

Gavt egaanye ebyókwongezaayo obudde bwa Kafyu

Ivan Ssenabulya

April 13th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye

Ssabaminisita Dr Ruhakana Rugunda ayagaanye okusaba kwa bannauganda okwongerayo ebiseera bya kafyu okuva ku ssaawa 3-4.

Abayisiramu babadde basabye gavt okwongerayo obudde buno kibasobozese okutambula nga tebapapirira mu kuva okusaala mu budde buno obwekisiibo.

Omubaka wa kawempe north Latiff Ssebaggala ategezeza palamenti nti eswala eza Taraweeh ezisaalibwa oluvanyuma lwokusibulukuka ziba za kiro.

Wabula ssabaminisita agambye nti baminisita batudde ne bakola okwebuuza kunsonga eno bannasayansi ne bawabula nti sikekadde okugyawo kafyu kuba akawuka akapya aka covid kongedde okwegirisa mu mawanga agenjawulo.

Rugunda ayongedde nategeeza nga omukulembeze weggwanga bwagenda okwogerako eri eggwanga atangaze kunsonga eno mu bwangu.

Mungeri yemu ye minisita avunanyizibwa kunsonga ezomunda mu ggwanga Jeje Odong awakanyiza ekiwandiiko ekyafulumizibwa akulira ebikwekweto bya poliisi Edward Ochom ku kwongerazaayo obudde bwa kafyu okudda ku ssaawa 4.

Odong agambye nti Ochom talina buyinza bwongezaayo kafyu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *