Amawulire

Feffekka Sserubogo agenda kuzikibwa egulo lino

Feffekka Sserubogo agenda kuzikibwa egulo lino

Ivan Ssenabulya

June 17th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omubaka wa gavumenti mu disitulikiti ye Kayunga Elijah Madoi akalambidde nti abantu amakumi 20 bokka bebangenda okukriza okwetaba mu kuziika abadde ssentebbe wa disitulikiti.

Muhamad Feffekka Sserubogo yasangiddwa olunnaku lweggulo ngalenegejjera ku muti, emanju wenyumba ye wabula agenda kugalamizibwa m nnyumba ye eyoluberera eggulo lino.

Kati abantu banagi basubirwa okwetaba mu kuziika kuno okuli aba NUP ekibiina omugenzi kyabadde awagira nabayisiraamu gyabadde alina nebifo kyobukulembeze.

Kati RDC awabudde nti amateeka nebiragiro byonna ku kirwadde kya ssenyiga omukambwe, gatekeddwa okugobererwa.

Okuziika kuno kuli ku kyalo Kyebanja ku butaka e Kayunga.

Mungeri nobwakabaka bwa Buganda baakungubagidde omugenzi, olwokufiirwa eyali omukiise we Bugerere mu lukiiko lwa Buganda.

Ono abadde mu lukiiko okuva mu mwaka gwa 1997 okutuusa lweyanyuse emirmu gya Kabaka okugenda mu byobufuzi.