Amawulire

FDC ssiyakusimba wa Sejusa mu Lutalo

Ali Mivule

August 26th, 2013

No comments

Muntu

Ab’ekibiina kya FDC bagamba nti tebasobola kusimba mabega wa Muntu yenna alina enteekateeka ezireeta enkyukakyuuka ng’ayita mu ntalo

Akulira ekibiina kino Mugisha Muntu agamba nti yadde akimanyi nti gavumenti eno mbi, omuntu yenna okugisigukulula alina kuyita mu mateeka..

Muntu abadde addau bibuuzo ebyekuusa ku wa ekibiina kino wekiyimiridde kuGen David Sejusa n’enteekateeka ze

Muntu agamba nti ekibiina ky’akulira kiwagira mirembe era omuntu yenna elina ekigendererwa ekirala tebasobola kumwegattako

Kino kizze nga gen Sejusa akyagenda mu maaso n’okuwanda ebigambo ebiringa omususa ku ngeri gavumenti gy’eddukanyizibwaamu

Gavumenti yategeeza dda nga bw’agenda okuvunaanibwa ogw’okulyaamu ensi ye olukw eolw’ebigambo bino by’awandula