Amawulire

FDC essanyukidde America ku bya Kayihura

FDC essanyukidde America ku bya Kayihura

Ivan Ssenabulya

September 16th, 2019

No comments

Bya Damali Mukhaye, Ab’oludda oluvuganya gavumenti mu kibiina kya FDC basanyukidde natti eggwanga lya America, zeryatadde ku eyali ssabapoliisi we ggwanga Gen Kale Kayihura, olw’ebikolwa ebityoboola eddembe ly’obuntu bye yatuusa ku bananansi weyabeerera mu kifo kino.

Bwabadde ayogera ne bannamawulire ku kitebbe ky’ekibiina e Najjanankumbi, omwogezi wa FDC Ibrahim Ssemujju Nganda agambye nti ebikolwa bingi ebyatuusibwa ku bantu, nga onokodeyo agasajja agaagenda gakuba abantu abatalina musango, okutulugunya abateberezebwa okuzza emisango e Nalufenya n’ebiralala .

Ssemujju agambye nabaali bakamabe basanye bakaligibwe obutalinya mu mawanga gakirimaanyi kuba nabo bakoze bingi ebityobola eddembe ly’obuntu

Wabula bino byonna Kayihura yabyegaana mu kiwandiiko kyeyafulumya, naagamba America yayagala kumukonjera talina kubyamwogedwako tewali kyeyakola.