Amawulire

Faaza yesimide entaana ye

Ivan Ssenabulya

March 26th, 2020

No comments

Bya Musasi waffe

Munnansi wa Italy omusumba ku kkanisa ya Angal Catholic Parish mu district ye Nebbi, Fr Elio Zanei yesimidde entaana ngategeka okufa kwe.

Kino kidiridde okumutegeeza nti abenganda ze bonna baafa ekirwadde kya COVID-19 ku butaka mu Italy.

Ono abadde ku buwereza mu Parish eno okuva mu mwaka gwa 1996, nagambye nti abantu be bonna okufa okugwawo kmukubye encukwe era kati ategeka magenda ge, lwalibasisinkana.

Omubaka wa gavumenti mu district ye Nebbi, Christopher yye asabye banadiini okuyamba faaza ono, kubanga alabika atabuddwa olwembeera gyalimu.