Amawulire

Eyazikibwa mu 2017 omulambo bagusanze kungulu

Eyazikibwa mu 2017 omulambo bagusanze kungulu

Ivan Ssenabulya

March 14th, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Buyuge mu gombolola ye Ibulanku mu district ye Iganga, bwebazudde omulambo gwomukazi wa myaka 56, ku ngulu ku ntaana.

Omugenzi ye Judith Nantale nga yafa amu mwaka gwa 2017, nebamuziika, wabula kibewunyisizza, okusanga aomulambo gwe, nga gwazikuddwayo.

Kati omwogezi wa poliisi mu Busoga East, James Mubi agambye nti batandise okunonyererza kiki ekyatuuse ku mugenzi.

Agamba nti yenna gwebanakwatako, nga yebadde emabge wekikolwa kino, waakuvunanibwa omusango gwokutataganya eddembe lyabafu