Amawulire

Eyawangula Muyingo ataddeyo okwewozaako kwe

Eyawangula Muyingo ataddeyo okwewozaako kwe

Ivan Ssenabulya

April 2nd, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Eyawangula minisita owebyenjigiriza ebya waggulu mu John C. Muyingo mu kalulu, e Bamunanika ataddeyo okwewozaako kwe, ku musango gwebyokulonda gwebamugulako.

Robert Ssekitoleeko, omubaka omulonde owe Bamunanika bamuwawabira nakakiiko kebyokulonda ng’omulonzi Christopher Mafabi yeyaddukira mu kooti.

Ono alumiriza nti okulonda kwalimu okubba akalulu, okugulirirra abalonzi nebikolwa ebirala bingi ebiemenya amateeka.

Ssekitoleeko eyakwatira ekibiina kya National Unity Platform bendera yalanagirirwa ku buwanguzi nobululu emoitwalo 2 mu 7,850 atenga Muyingo owa NRM yafuna emitwalo 2 mu 4, 463.

Mafabi alumiriza Ssekitoleeko, okugenda ngagabagaba ssente mu bantu, ekimenya amateeka.

Kati mu kwewozaako kwataddeyo, agambye nti bino ssi bituufu kubang bamulonda mu mazima, era abantu bamuyiira akalulu mu bungi awataali kumenya amateeka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *