Amawulire

Eyawamba Om’emerica asimbiddwa mu kooti

Eyawamba Om’emerica asimbiddwa mu kooti

Ivan Ssenabulya

April 18th, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Omusajja agambibwa nti yeyali emebega w’okutekateeka kwonna okuwamba, munansi wa America omulamuzi Kimberly Sue ne munna Uganda Jean Paul Mirenge, avunaniddwa.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi Fred Enanga, Onesmus Byaruhanga owemyaka amanyiddwa nga Kaliisa era yali ysisngsibwako emisango nbamusiba.

Ono asimbiddwa mu maaso gomulamuzi wa kooti ento mu district ye Kanungu.

Enanga atubuliidde nti ono file ye eraga nti omusango yaguzza nga 2nd April, bweyawagira, okutekateeka ate neyetaba nemu byakolebwa okuwamba abantu bano.

Yyo poliisi egamba nti yasobodde okugwa mu buufu nokusatulula olugejegere lwabantu bano abaawamba.