Amawulire

Eyavuganya ku bubaka bamubanja ez’ennyumba

Eyavuganya ku bubaka bamubanja ez’ennyumba

Ivan Ssenabulya

October 3rd, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Munna DP era eyavuganya ku kifo kyomubaka omukyala mu district ye Mukono mu kulonda kwa 2016 Hanifah Nabukeera kigambibwa nti bamusanze adduka mu nnyumba oluvanyuma lw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa obukadde 7.

Okusinziira ku landlord Haj. Umar Ddumba bamusanze atikka ebintu ku mmotoka, agende song abanjibwa.

Agambye nti abadde amubanjidde omwaka mulamba, ngamusubiza ssente jjo ne leero.

Wabula Nabukeera akiriza nti abanjibwa, naye awakanyizza byebamulumiriza okudduka, nagamba nti yasobodde nokusasulako ssente ezimu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *