Amawulire

Eyatulugunya omwana bamusindise ku alimanda

Eyatulugunya omwana bamusindise ku alimanda

Ivan Ssenabulya

September 26th, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Omulamuzi we ddaala erisooka mu kooti e Kaliro Wilberforce Egessa aliko omusajja gwasindise ku alimandamu kkomera, olwokutyoboola eddembe lyomwana owemyaka 4.

Soul Mukunya ow’emyaka 29 nga mutuuze ku kyalo Namuningi mu gombolola ye Kisinda e Kaliro, nga kigambibwa nti yakakana ku mwana we omulenzi namaukuba ngyoku ttale, namwokya ngamulumiriza okubba enva zebyanyanja.

Omuvunanwa asimbiddwa mu maaso gomulamuzi, nebamuomera omusango nga kigambibwa nti yaguzza mu July womwaka guno.

Kati omulamuzi Egessa alagidde nti akomezebwewo mu kooti nga 1 Octoba.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *