Amawulire

Eyatta muganziwe asazeewo kusirika

Eyatta muganziwe asazeewo kusirika

Ivan Ssenabulya

January 14th, 2020

No comments

Bya Ruth Anderah, Brian Bagyenda mutabani wa ssenkulu w’ekitongole kya ISO Col Kaka Bagyenda asazeewo okusirika, ng’emu kungeri y’okwewozaako ku misango gy’okutemula eyali muganzi we Enid Twijukye ejimuvunanibwa.

Omulamuzi Moses Kazibwe yalagira Bagyenda ne banne babiri bwebavunanibwa bewozeeko, kubanga oludda oluwaabi lwaleeta obujulizi obumala, era obwkakasa nti alina omusango ogwokwewozaako.

wabula aolwaleero balabiseeko mu kooti, omuvunanwa okuyita mu banamateeka we Nsubuga Mubiru agambye nti waakusirika, kooti yesalirewo ngenziiira neku bajulizi banaleeta okuli kitaawe Col. Kaka Bagyenda ne mwanyina omusawo e Butabika Dr. Brian Mutamba.

Bagyenda nga yali musawo e Mulago avunanibwa ne Innocent Bainomugisha ne Vincent Rwahwire abaali abakozi ba lejjalejja mu Kimwanyi zone e Luzira mu division ye Nakawa.

Oludda oluwaabi lugamba nti beebatta Enid Twijukye eyali owemyaka 22, nga yali muyizi ku Ndejje University.
omusango kigambibwa nti baaguzza mu January wa 2017 ku Njobe road e Luzira mu maka ga Brian Bagyenda.