Amawulire

Eyatta Mowzey Radio bamusibye emyaka 14

Eyatta Mowzey Radio bamusibye emyaka 14

Ivan Ssenabulya

October 31st, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah

Omulamuzi wa kooti enkulu Entebbe awadde Godfrey Wamala amanyiddwa nga Troy ekibonerezo kyakusibwa emyaka 13, emyezi ne nnaku 26 olwokutta omuyimbi Moses Ssekibogo eyali amanyiddwa nga Mowzey Radio.

Omulamuzi Jane Frances Abodo abadde amuwadde ekibonerezo kya myaka 14 wabula namujirako omwaka 1 nemyezi 8 ne nnaku 26, ebbanga lyabadde amaze ku alimanda.

Agambye nti yatunuliidde nnyo ekyokuba nti gwemulundi gwe ogwasoose okuzza omusango, kale kwekumuberera owekisa natamausiba mayisa nga famile yomugenzi bwebadde esaba.

Ku Bbalaza omulamuzi ono yejerezza Wamala omusango gwobutemu, wabula namusingisa omusango gwokutta mu butanwa.

Omulamuzi era yategeeeza nga bweyazuula nti omuvunanwa teyalina kigendererwa kyakutta Radio, wabulanga kyava ku luyombo lwebafuna nga batamidde.

Mu kino wbaula omulamuzi yategeeza nga Troy era bwatekeddwa okusasulira ensobi ze.

Mozey Radio yafa nga 1 mu February wa 2018 oluvanyuma lwokulwanagana, okwaliwo mu baala ya Debar Entebbe nga 22 mu January 2018.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *