Amawulire

Eyatta kitaawe bamusibye ssaawa

Ali Mivule

September 10th, 2013

No comments

Woman kills dad

Omuwala ow’emyaka 18 eyatta kitaawe eyali ayagala okumukwata asingisiddwa omusango

Omuwala ono Hafuwa Namata owe Masaka yayatiikirira nnyo bweyakuba kitaawe gweyali agamba nti amukaka omukwnao olutatadde nga kino akikola ne ku nyina kko ne baganda be abalala.

Omulamuzi agubadde mu mitambo, Margaret Ouma  Oguli omuwala ono amusalidde ekibonerezo kya kwebaka mu kkomera okumala essaawa mukaaga nga zino ziweddeko ku ssaawa kkumi n’emu eza leero.

Omusajja eyattibwa ye Ahmed Majwala ono nno nga yali amaze n’okumufunyisa olubuto.

Namata ono ali lubuto lwa myezi musanvu era nga lwa kitaawe.

Omulamuzi Ouma avumiridde ebikolwa by’obukubagano mu maka n’okutulugunya abaana ebyeyongera buli lukya.