Amawulire

Eyatomeddwa emmotoka ya KCCA alaajanye

Ali Mivule

July 17th, 2017

No comments

Aba KCCA abakwasisa amateeka nga bawamba ebintu by’abasuubuzi gyebuvuddeko

Bya Shamim Nateebwa

Omusubuuzi atomedwa emotooka ya KCCA alaajanye bamuddukirire.

Sarah Namayanja  owemyaka 40 nga mutuuze eKawempe – Lugoba atunda ebyokunywa mu ppaaka ankadde y’alajanye n’ategeeza nti kyamutuseeko atwalibwa mu kkooti aba KCCA.

Namayanja  mukiseera kino ali mu ddwaliro e Mulago agamba nti bwe baabadde bagenda oluggi lweggudde n’avaamu n’agwa wansi ate emmotoka n’emulinnya okugulu,kyokka mukiseera kino talina ssente za kumujjanjaba kugulu kuba yabadde alabirira abaana be basatu okuva lwe yayawukana ne bba.

Asabye aba KCCA bamuyambe okumujjanjaba asobole okuwona kuba talina asobola kulabirira baana be.

Omwogezi wa KCCA, Peter Kaujju ategeezezza nga bwe yabadde tannafuna mawulire gonna gakwata ku mukazi eyamenyeddwa okugulu n’agamba nti ensonga zino agenda kuzinoonyerezaako azuule ekituufu.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *