Amawulire

Eyatoloka omulala akwatiddwa

Ivan Ssenabulya

April 17th, 2018

No comments

Bya Sam Ssebuliba

Omu ku ba Kijambiya, ababiri abatoloka mu kkooti e Masaka abateberezebwa okubeera emabge wobutemu mu bitundu bino, omulala akubiddwa aba Flying Squad, nabuuka nebisago.

Omwogezi wa poliisi mu gwanga Emillian Kayima akakasizza okukubibwa kwa Musa Galiwango nga kigambibwa nti akubiddwa ku ssaawa nga 8 2ekiro kya leero ku kyalo Kigalama e Rushame mu district ye Ntungamo

Ono bamukutte nga kati ajanjabibwa mu ddwaliro lye Mbarara.

Okukwatibwa kwa Galiwango wekujidde nga munne  bwebatoloka Mohammed Kiddawalime yakajja attibwe gyebuvuddeko mu district ye Kalungu.

Bano baali bayingiridde enyumba yomutuuze gyebatayiriza, wabula omu nadduka