Amawulire

Eyasobya kuw’emyaka 4 avunaniddwa

Eyasobya kuw’emyaka 4 avunaniddwa

Ivan Ssenabulya

September 24th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah

Omusajja agambibwa okwekakatika ku mwana wa muliranwa we, ow’emyaka 4 ddaaki asimbiddwa mu mbuga z’amateeka navunanibwa omusango.

Katumba Isaac asomeddwa omusango mu kkooti enkulu mu Kampala mu maaso g’omulamuzi Jane Frances Abodo wabula nagwegaana.

Kati omulamuzi alagidde nti addizibweyo ku alimanda mu kkomera e Luzira okutukiera ddala nga 3 Octoba lwanakomezebwawo atandike okuwerenemba n’omusango gwe.

Oludda oluwaabi lugamba nti ono omusango yaguzza nga 30 mu July wa 2017 ku kyalo Kiwalimu mu district ye Wakiso bweyakakana ku kaana ak’emyaka 4 nakagagambula obumuli maama waako, bweyali taliiwo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *