Amawulire

Eyasobya ku mwana owemyaka 7 asibiddwa emyaka 22

Eyasobya ku mwana owemyaka 7 asibiddwa emyaka 22

Ivan Ssenabulya

October 12th, 2019

No comments

Bya Maliki Fahad, Kkooti enkulu e Masaka eriko omusajja gwekalize emyaka 22 agimale mu mbuzzi ekogga llwakusobya ku mwana atanetuuka.

Omusajja kagwensonyi ono ategerekese nga Saidi Waswa 43, yasaliddwa omusango gwokujula ebitanajja ku muzukulu wa mukamaawe Ruth Nakyeyune.

Oludda oluwaabi nga lukulembedwamu Shebah Byakutaga lutegezeza omulamuzi Dr Winfred Nabisinde nti Waswa omusango yaguza nga 30.11.2014 ku kyalo Kasana mu district ye Lwengo

Kigambibwa nti ono yakaka omwana ono owemyaka 7 okumuwerekerako ku luzzi jjaajawe bweyali taliiwo

Oludda oluwaabi lugamba nti mu kudda jjaajja womwana yamulaba avaamu omusaayi namubuuza ogubadde, omwana nayogera byonna nga bwebyali.

Omulamuzi tabadde mubi kwekumusalira emyaka 22 agimale mu nkomyo oba olyawo anayiga.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *