Amawulire

Eyasobya ku mwana ayagala bigwere bweru wa kkooti

Eyasobya ku mwana ayagala bigwere bweru wa kkooti

Ivan Ssenabulya

October 21st, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah, Omusajja ow’emyaka 28 asabye kkooti enkulu mu Kampala emuteeke mu nkola eya puli bageyini oluvanyuma lw’okusobya ku mwana ow’emyaka mwenda.

Othieno Michael bino abyogedde oluvanyuma lw’okusimbibwa mu kkooti enkulu mu Kampala era nalaba abajulizi omuli n’omwana gwe yatusaako eby’ensonyi.

Omulamuzi Jane Frances Abodo akkiriza okusaba kwa Othieno era namuwa obudde ateseganye n’oludda oluwaabi ku kibonerezo ekiba kimuweebwa.

OLudda oluwaabi lugamba nga April 23rd 2017 e Kawempe wano mu Kampala Othieno yekakatika ku mwana ow’emyaka omwenda gyokka bweyali atumiddwa ku dduuka.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *