Amawulire

Eyasobya ku mwana akwatiddwa

Eyasobya ku mwana akwatiddwa

Ivan Ssenabulya

July 1st, 2019

No comments

Bya Sadat Mbogo, Poliisi mu district y’e Gomba eriko omusajja gw’ekutte nga kigambibwa nti yasangiddwa lubona, ng’asobya ku mwana atanetuuka.

Omukwate mutuuze ku kyalo Mirambi mu ggombolola y’e Kabulasoke.

Okusinziira ku muduumizi wa police mu district y’e Gomba Alfonse Musoni, omukwate wa myaka 30 ngomuwala gweyatunuza mu mbuga ya Sitaani wa myaka 11 gyokka.

Taata w’omwana Besweri Ssennyondo agambye omusajja ono okusobya ku muwala we yabadde amutumye mu lusuku okubaako ettooke lyayunja bafumbe kyokka bweyalabye aluddeyo kwekumukimako, yasanze omwana we ali mu kujana.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *