Amawulire

Eyasobya ku muyizi mu ositeero yandiwona ekkomera

Eyasobya ku muyizi mu ositeero yandiwona ekkomera

Ivan Ssenabulya

September 19th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah

Omusajja agambibwa nti yayingirira omuwala mu hostel namusobyako, yandiwona ekkomera oluvanyuma lwoludda luwaabi okulemererwa okuzuula gweyasobyako gyali.

Kenny Chrispus aziddwayo ku alimanda mu kkomera e Luzira gyanbadde okuva mu March wa 2015, ngolwalero gwegubadde omulundi gwe ogusooka okuletebwa mu kooti.

Ono asimbiddwa mu maaso gomulamuzi wa kooti enkulu Yasin Nyanzi, wabula emisango ejimusomeddwa nagyegaana.

Kati omulamuzi tataddewo lunnaku omusango guno lwegunatandika okuwulirwa, oluvanyuma lwoluda oluwaabi okutegeeza nga bwebalemereddwa okuzuula omujulizi omukulu mu musango guno, nga tebamanayi gyali.

Omulamuzi awadde oludda oluwaabi obutasukka nga 26 Sebutemba, okuba nga bamaze okwebuuza ku ssabawaabi wa gavumenti obang ousango guno akyagwetaaga.

Omuvunanwa kigambibwa nti omusango yaguzz nga 21 mu March wa 2015 ku Bilabwa hostel e Makerere zone bweyayingirira omuwala mu kisnge kye, namumalirako ejjakirizi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *