Amawulire

Eyasobya ku muwala we owemyaka 6 gumusse mu vvi

Eyasobya ku muwala we owemyaka 6 gumusse mu vvi

Ivan Ssenabulya

July 20th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omulamuzi wa kooti enkulu e Mukono Margret  Mutonyi aliko ssemaka gwasigisinza omusango gw’okukabasanya muwala we ow’emyaka 6.

Tom Mulindwa owemyaka 40 nga mutuuze ku kyalo Katungulu mu district ye Buikwe yasigisindwa omusango gwabadde amaze ebbanga ng’agwegana kati emyaka 4 ngalai ku alimanda e Luzira.

Omuwambi wa gavumenti Ann Kabajungu ategezezza kooti nti maama w’omwana ono yafuna obutakanya ne bba, nebawukana era omwana namuleeka ne kitaawe nga mu kiseera ekyo yali wa myaka omukaaga nga yali asoma kibiina ky’akubbiri, ate Mulindwa natandika kumufuula mukyala we.

Omulamuzi ataddewo olwanga 3 mu August lwagenda okumuwa ekibonerezo.

Okusinziira aku ludda oluwaabi ono omusango yaguzza mu 2010 ne 2013.