Amawulire

Eyasobya ku Kiggala gamumyuse

Eyasobya ku Kiggala gamumyuse

Ivan Ssenabulya

September 15th, 2020

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omusajja ow’emyaka 30 asindikiddwa mu kkooti enkulu atandike okuwerenemba n’omusango gw’okukaka kiggala omukwano.

Daniel Edaru asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi we ddaala erisooka mu kkooti y’e Mukono Patience Kabarunga amusindise mu Kkooti enkulu atandike okuwozesebwa.
Kino kidiridde oluvanyuma lw’oluwaabi wa government Agnes Kiconco okutegeza nti okunonyereza kwawedde.
Kkooti ekitegedeko nti kiggala yasobezebwako emirundi ejisuka mugumu mu mwezi gwa November 2019 ku kyaalo Kalaji mu district ye Mukono.
Kigala agambibwa okusobezebwako yali wa myaka 16 era nga mutuuze ku kyaalo Kalaji.
Kati adiziddwayo mu kkomera e Kitalya okutuusa kkooti enkulu lwerimuyita atandike okuwozesebwa.