Amawulire

Eyanoba emyaka 17 akomyewo mu bufumbo

Eyanoba emyaka 17 akomyewo mu bufumbo

Ivan Ssenabulya

July 22nd, 2019

No comments

Bya Sadt Mbogo

Abatuuze ku kyalo Nakirama-Kasenge mu Town Council ye Kyengera beerabidde katemba atali musasulire maama n’abaana be 4 bwebatutte taata ku poliisi.

Kigambibwa nti maama Grace Nabadda yafunamu obutakkanya ne bba Moses Matovu era n’anoba, wabula kati ayagala kudda mu maka kuze abaana.

Wabula weyanobera nga abaana bato, ng’eyali omukulu yamuleka alina emyaka 7 nga kati alina emyaka 23 ngasembayo yalina amannyo 2 mu kamwa nga kati ali mu S1 era ng’alina emyaka 13.

Omukyala ono kigambibwa nti yafumbirwa ku kyalo kino kyenyini era n’azaalayo abaana 3 wabula nga esawa eno agamba akomyewo mu maka, akuze abaana be.

Poliisi kati ekutte Matovu nemuggalira ekigye abatuuze mu mbeera, nebakiwakanya.

Omuajja agambye nti yafuna obutakkanya ne Nabadda n’amutema ekiso ku mutwe, era n’enkovu ajiraga wabula bweyamala okumutema nadduka ku kyalo ate kati yewuunya, ekimukomezaawo.

Kawefube waffe okwogerako ne poliisi tasobose.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *