Amawulire

Eyali omubaka Kantiti bamusibye lwa bbanja

Eyali omubaka Kantiti bamusibye lwa bbanja

Ivan Ssenabulya

July 8th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah

Eyali omubaka wa wa Kyadondo East mu palamenti Apollo Kantinti, kooti emusindise mu kkomera e Luzira yebakeyo emyezi 6, oluvanyuma lwokulemererwa okusasula ebbanja lyabukadde 108 eri munnakibiina kya NRM Sitenda Sebalu eyamuwawabira.

Ono owekibiina kya FDC abadde amaze ennaku 10 era mu kkomera e Luzira era olwe bbanja lya bukadde 300, ezimubanjibwa Standard chartered Bank nga kigambibwa nti yewola mu June wa 2016 okusobola okwetaba mu kalulu akokudibwamu mu ssaza lino erya Kyadondo East MP.

Kigambibw nti Kantinti yali yasubiza okusasula banka mu myezi 50 wabula omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu mu bweyawangulwa mu kalulu, banka yantinda kumuteza bitimba.

Omuwandiisi wa kooti Flavia Nabakoza nga 27th June 2019 yeyasindise Kantinti mu kkomera e Luzira, ne Sebalu olwakitegedde nayita mu ba wanyondo ba Moses Kirunda okusaba ekiragiro kya kooti bamuleete.

Wabyula omulamuzi alagidde nti bamusibe emyezi 6 ne Sebalu asasulenga 3000 buli lunnaku, ezokumugulira emmere, akawunga nebijanjaalo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *