Amawulire

Eyali Meeya yesambye FDC

Ali Mivule

November 16th, 2015

No comments

Eyaliko meeya we Hoima Francis Atugonza awandisiddwa okuddamu okwesimbawo ku kifo kyekimu kyokka nga tajjidde mu kibiina kye ekya FDC.

Ono yesimbyeewo nga tasinzidde mu kibiina kyonna.

Atugonza akakasiddwa akulira eby’okulonda mu disitulikiti ye Hoima Douglas Masiko.

Atugonza yawangulwa munna NRM Grace Mugasa ku bwa meeya mu mwaka gwa 2011.

Atugonza musajja wa FDC nnyo era nga yaliko n’omuwandiisi akola ku byobusuubuzi mu kibiina.

Asembedddwa munna NRM Haruna Kasanga n’akakasibwa mukyala we Annet Nsungwa.

Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire, Atugonza agambye nti asazeewo obutesimbawo ng’asinziira mu FDC kubanga abantu baamusaba ajje ku lulwe.