Amawulire

Eyakima omwana e Rwanda bamwawudde

Ivan Ssenabulya

March 24th, 2020

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Waliwo omukyala munansi wa Rwanda atemera mu gyobukulu 25 ne muwala we owemyak 2 abateredwa mu quarantine ku dwaliro enkulu e Masaka, oluvanyuma lwokubateberezza okuba nobumu ku bubonero obwefananyirizza obwa COVID 19.

Okusinziira ku ssentebbe we kyalo Kitengeesa Kudrah Mwanje omukyala ono yea Monica Sumiza nga yava mu gwanag lya Rwanda sabiti ewedde gyeyali agenze okunona muwala we, era nakomawo ku Lwomukaaga.

Sumiza agambye nti omwami yamukubira esiimu ngamusaba anone omwana, wabulanga ku nsalo agamba nti tebakeberebwa.

Akulira edwaliro lye masaka Dr Nathan Onyachi ategezezza nga bwebagyidwako sampo, okwongera okubekebejja.

Ate abBya Gretebyokwerinda e Masaka baliko abantu 3 bebayigga nga bagambibwa nti babadde bakava mu Dubai.

Omubaka wa gavumenti Herman Ssentongo atenderezza abatuuze olwokufaayo, okuloopa abantu abakakomawo mu gwanga bebekengeera.