Amawulire

Eyagenze okunaaba basanze mulambo

Eyagenze okunaaba basanze mulambo

Ivan Ssenabulya

November 11th, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Bukiki mu gombolola ye Namaremba mu district ye Kaliro omusajja owemyaka 23, bwasirittuse nagwa nakalirawo.

Omugenzi ye Hussein Kalule ngabadde mugoba wa mmotoka kika kya loole, eranga mutuuze ku kyalo kino.

Ssentebbe we kyalo Grace Mukulu agambye nti bino bibaddewo, ono bwabadde agenze okunaaba oluvanyuma basanze mulambo.

Kati poliisi ejeewo omulambo negutwalibwa mu gwanika okwongera okwekebejebwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *