Amawulire

Eyagenze mu ssabo okumulagula bamukubiddeyo

Eyagenze mu ssabo okumulagula bamukubiddeyo

Ivan Ssenabulya

July 11th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omuvubuka eyagenze mu ssabo okumulaga eyabbye Laptop yaabwe akiguddeko, bwebamukubye emiggo okukakana ngamenyese omugongo.

Bino byabadde mu ssabo lya Toony Ssentongo era kitgezeddwa nti eno, omuvubuka ono gyeyafunidde obuvune ku bitundu bye ebyekyama.

Allan Ssematimba nga mutuuze ku kyalo Butebe mu munisipaali ye Mukono yaanyiga ebiwundu mu ddwaliro lya Mukono General Hospital, wetwogerera tasobola kutambula wadde okutuula, era awulire obulumi mu mugongo, mu bitundu byekyama, emikono, amaggulu n’omubiri gwonna.

Ono okugenda mu ssaabo lya Ssentongo agambye nti mukwano gwe William Mukiibi yeyamututeyo oluvanyuma lwokubabbako Laptop.

Atwala ebyokwerinda ku kyalo, Geoffery Lwanga agambye nti embeera omuvubuka ono gyeyatukiddemu ewuwe yabadde mbi nnyo.

Ono era alaze okutya olwemize gyokweraguza mu kitundu kyabwe, atenga tejibaddeemu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *